Numbers 29:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oweererezangako ekitone eky'obuwunga n'eky'okuyiwa, ng'ebipimo bigererwa ku muwendo gw'ebisolo obungi ng'etteeka bwe ligamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako, ku lw'ente, ku lw'endiga ennume, ne ku lw'endiga ento, ng'omuwendo gwazo bwegunaabanga ng'etteeka bwe liri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga enaume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri: