Numbers 29:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ku lunaku olwomunaana mukolanga olukuŋŋaana olw'ekitiibwa; temukolerangako mulimu gwonna muzito.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku lunaku olw’omunaana munaakubanga olukuŋŋaana, era temuukolenga mirimu gya bulijjo egy’okukakaalukana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ku lunaku olw'omunaana olw'embaga, munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu, temulukolerangako mulimu gwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku lunaku olw'omunaana, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku olw'omunaana munaabanga n'okukuŋŋaana okw'okwewombeeka: temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: