Numbers 29:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muweerezanga Omukama ekitambiro ekiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa, ekitambiro ekyokye eky'ente ennume emu, n'endiga ennume emu, n'obuliga obulume musanvu obw'omwaka ogumu, byonna nga tebiriiko kamogo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaawangayo ekiweebwayo ekyokye omuva akaloosa akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kye kiweebwayo ekyokye eky’ente eya sseddume emu, n’endiga ennume ento emu, n’abaana b’endiga abalume musanvu ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama: ente emu, endiga ennume emu, endiga ento eziwezezza omwaka, era ezitaliiko bulema musanvu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ne mukyokya nga kiramba, kiwunyire Mukama akawoowo: ente emu, endiga enkulu ennume emu, n'endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama: ente emu, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema: