Numbers 29:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku buli nte nnume, ku buli ndiga nnume, ne ku buli kaliga akalume, muweererezangako ekitone eky'obuwunga n'ekitone eky'okuyiwa, ng'ebipimo bigererwa ku muwendo gw'ebisolo obungi ng'etteeka bwe ligamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku nte ne ku ndiga ento ennume ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako ku lw'ente, ku lw'endiga ennume, ne ku lw'endiga ento, ng'omuwendo gwazo bwegunaabanga, ng'etteeka bwe liri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, binaabanga ng'omuwendo gwabyo, ng'etteeka bwe liri: