Numbers 29:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ebyo mubiweerezanga Omukama ku mbaga zammwe eziragiddwa, kwe kugamba, ebitambiro byammwe ebyokye, ebitone eby'obuwunga, ebitone eby'okuyiwa, n'ebitambiro eby'okussa ekimu, nga mugatta ku bweyamo bwammwe n'ebitambiro byammwe ebyeyagalire.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ebiweebwayo ebyo munaabiwangayo eri Mukama Katonda ku mbaga entongole ezaategekebwa era ezaalagirwa; nga mubyongera ku biweebwayo bye mweyama, n’ebya kyeyagalire, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke, n’ebiweebwayo ebyokunywa n’ebiweebwayo olw’emirembe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ebyo bye munaawangayo eri Mukama ku mbaga zammwe ezaalagirwa; ng'ogasseeko obweyamo bwammwe, n'ebyo bye muwaayo ku lwammwe okuba ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebiweebwayo eby'obutta, n'ebiweebwayo eby'okunywa era n'ebiweebwayo olw'emirembe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ebyo bye munaawangayo eri Mukama ku mbaga zammwe ezaateekebwawo, bibe ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa, era ne bye muwaayo olw'okutabagana. Munaabiwangayo, nga mwongereza ku ebyo bye muwaayo okutuukiriza obweyamo bwammwe, ne ku ebyo bye muwaayo nga mweyagalidde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo bye munaawangayo eri Mukama mu mbaga zammwe ezaalagirwa, obutassaako bweyamo bwammwe, n'ebyo bye muwaayo ku bwammwe, okuba bye muwaayo ebyokebwa, ne bye muwaayo eby'obutta, ne bye muwaayo eby'okunywa, ne bye muwaayo olw'emirembe.