Numbers 29:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mubiweerezanga okwongereza ku bitambiro ebyokye ebya buli mwezi n'ebyo ebya buli lunaku awamu n'ebitone eky'obuwunga n'eky'okuyiwa ng'etteeka bwe ligamba ku byo. Bye bitone ebiwongere Omukama n'omuliro, akawoowo akasanyusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okwo kwe munaagattanga ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli mwezi, n’ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa, nga bwe kyalagirwa. Binaabanga ebiweebwayo ebyokebwa nga biweereddwayo eri Mukama Katonda ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awamu n'ebyo munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako, ng'etteeka lyabyo bwe liri, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo munaabiwangayo, okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba eky'olunaku olusooka mu mwezi, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, era n'ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, okuli n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ebigenderako, nga bwe byalagirwa. Ebiweebwayo ebyo ebyokebwa biwunyira Mukama akawoowo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa eky'omwezi ogwakajja guboneke, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako, ng'etteeka lyabyo bwe liri, okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.