Numbers 29:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muweerezanga Omukama akawoowo akasanyusa, ekitambiro ekyokye eky'ente ennume ento emu, endiga ennume emu, n'obuliga obulume musanvu obw'omwaka ogumu, byonna nga tebiriiko kamogo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ento eya sseddume emu, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume ab’omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu, byonna nga tebiriiko kamogo ng’ebyo kye kiweebwayo ekyokebwa omuva akawoowo akasanyusa Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, okuba evvumbe eddungi eri Mukama: ente envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume musanvu, eziwezezza omwaka era ezitaliiko bulema;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, ekiwunya akawoowo: ente envubuka emu, endiga enkulu ennume emu, endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, era nga zonna teziriiko kamogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama okuba evvumbe eddungi; ente envubuka emu, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu; banaabanga gye muli abataliiko bulema: