Numbers 3:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Londa Aroni ne batabani be baweereze nga bakabona; omuntu owa bulijjo asemberangawo wa kuttibwanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoolonda Alooni ne batabani be okubeera bakabona; naye bwe wanaabangawo omuntu omulala yenna n’asembera awatukuvu, anaafanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era onooteekawo Alooni ne batabani be, okukola omulimu gwabwe ogw'obwakabona. Omuntu omulala yenna anaagezangako okugukola, anattibwanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era onooteekawo Arooni ne batabani be, okukola omulimu gwabwe ogw'obwakabona. Omuntu omulala yenna anaagezangako okugukola, anattibwanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onossaawo Alooni n'abaana be, era banaakuumanga obwakabona bwabwe: ne munnaggwanga anaasemberanga anattibwanga.