Numbers 3:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti buli ekiggulanda kyange; okuva luli lwe natta abaggulanda bonna mu nsi y'e Misiri, buli kyonna ekisooka okuzaalibwa, ka abeere muntu oba kisolo, nabyeyawulira, byange. Nze Mukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga byonna ebizaalibwa ebibereberye byange. Bwe natta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri neeyawulira ebibereberye byonna mu Isirayiri okubeeranga ebyange, abantu n’ebisolo. Nze Mukama Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ababereberye bonna bange; okuviira ddala ku lunaku lwe nnattirako ababereberye bonna mu nsi y'e Misiri, nneeroboza ababereberye bonna mu Isiraeri, okuva mu bantu era n'ensolo. Banaabanga bange, Nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga buli muggulanda, wange. Okuva ku lunaku lwe nattirako abaggulanda bonna mu nsi y'e Misiri, neeyawulira buli muggulanda mu Yisirayeli, ow'abantu n'ow'ensolo. Banaabeeranga bange, Nze Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga ababereberye bonna bange; ku lunaku lwe nnattiramu ababereberye bonna mu nsi y'e Misiri nneetukuliza ababereberye bonna mu Isiraeri, abantu era n'ensolo: banaabanga bange; nze ndi Mukama.