Numbers 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bala abazzukulu ba Leevi mu nnyumba za bajjajjaabwe ne mu masiga gaabwe, buli musajja okuva ku w'omwezi ogumu n'okweyongerayo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bala Abaleevi bonna mu mpya zaabwe ne mu bika byabwe. Bala buli mwana mulenzi ow’omwezi ogumu n’okusingawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bala abaana ba Leevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, ng'enda zaabwe bwe ziri, buli mwana mulenzi awezezza omwezi ogumu n'okusingawo onoomubala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bala Abaleevi ng'ogoberera ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, obale buli mulenzi awezezza omwezi ogumu n'okusingawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bala abaana ba Leevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, ng'enda zaabwe bwe ziri: buli mwana mulenzi eyaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo onoobabala.