Numbers 3:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
batabani ba Merari mu masiga gaabwe: Makuli ne Musi. Ago ge masiga g'Abaleevi mu nnyumba za bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano be batabani ba Merali ng’empya zaabwe bwe zaali: Makuli ne Musi. Ebyo bye bika by’Abaleevi ng’empya za bakitaabwe bwe zaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abaana ba Merali ng'enda zaabwe bwe zaali: Makuli ne Musi. Ezo ze nda z'Abaleevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani ba Merari, era bajjajja b'abasibuka mu ye, be bano: Mahuli ne Muusi. Abo be basibukamu Abaleevi, ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe zaali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba Merali ng'enda zaabwe bwe zaali; Makuli ne Musi. Ezo ze nda z'Abaleevi ng'enayumba za bakitaabwe bwe zaali.