Numbers 3:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuwendo gw'abasajja bonna abaabalibwa, okuva ku w'omwezi ogumu n'okweyongerayo, gwali kasanvu mu bitaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kasanvu mu ebikumi bitaano (7,500).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo abaabalibwa ku bo ng'omuwendo gw'abasajja bonna bwe gwali, abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, baali kasanvu mu bitaano (7,500).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwendo gwabwe bonna, abasajja n'abaana ab'obulenzi abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, abaabalibwa, gwali kasanvu mu bitaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo abaabalibwa ku bo ng'omuwendo gw'abasajja bonna bwe gwali, abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo, abo abaabalibwa ku bo baali kasanvu mu bitaano.