Numbers 3:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ab'ennyiriri za Gerusoni baasiisiranga mmanju wa Kisulo ku ludda lw'ebuvanjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’omu Gerusoni nga baakusiisiranga ku ludda olw’ebugwanjuba emmanju wa Weema ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'enda z'Abagerusoni banaasiisiranga emabega w'Eweema ku luuyi olw'ebugwanjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasibuka mu Gerusooni be baasiisiranga emabega w'Eweema, ebugwanjuba,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enda z'Abagerusoni banaassiisiranga nnyuma w'ennyumba ku luuyi olw'ebugwanjuba.