Numbers 3:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Kewati mwavaamu ennyiriri olw'Abaamuramu, olw'Abayizuwari, olw'Abakeburoni n'olw'Abawuzziyeli; ezo ze nnyiriri z'Abakewati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu Kokasi mwe mwava oluggya lwa Abamulaamu, n’oluggya lwa Abayizukaali, n’oluggya lwa Abakebbulooni, n’oluggya lwa Abawuziyeeri; ezo z’empya za Abakokasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mu Kokasi mwe mwava enda y'Abamulaamu, ey'Abaizukaali, ey'Abakebbulooni, n'ey'Abawuziyeeri; ezo ze nda z'Abakokasi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate mu Kohati mwe musibuka Abamuraamu, n'Abayizuhaari, n'Abaheburooni n'Abawuzziyeeli. Abo be Bakohati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu Kokasi mwe mwava enda y'Abamulaamu, n'enda y'Abaizukaali, n'enda y'Abakebbulooni, n'enda y'Abawuziyeeri: ezo ze nda z'Abakokasi.