Numbers 3:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuwendo gw'abasajja abaabalibwa, okuva ku w'omwezi ogumu n'okweyongerayo, gwali kanaana mu lukaaga. Omulimu gw'ab'ennyiriri z'Abakewati gwali gwa kulabiriranga Kifo Kitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kanaana mu lukaaga (8,600). Abakokasi be baweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga awatukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuwendo gw'abasajja bonna abaali bawezezza omwezi gumu n'okusingawo gwali kanaana mu lukaaga (8,600). Abo be baalabiriranga awatukuvu nga bwe baalagirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwendo gwabwe bonna, abasajja n'abaana ab'obulenzi abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, gwali kanaana mu lukaaga. Abo be baalabiriranga Ekifo Ekitukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'omuwendo gw'abasajja bonna bwe gwali abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo baali kanaana mu lukaaga abaakuumanga awatukuvu we baalagirwa.