Numbers 3:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baalabiriranga Sanduuku, emmeeza, ekikondo ky'ettawaaza, emyaliiro gyonna, n'eby'omu Kifo Ekitukuvu bye bakozesa mu kuweereza, olutimbe, na buli kigendera ku mirimu gyabyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakokasi be baabanga n’obuvunaanyizibwa okulabirira Essanduuko ey’Endagaano, n’emmeeza, n’ekikondo ky’ettaala, n’ebyoto, n’ebintu eby’omu watukuvu ebikozesebwa mu kuweereza, n’eggigi; n’emirimu gyonna egyekuusa ku buweereza obwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omulimu gwabwe gunaabanga kulabirira ssanduuko, n'emmeeza, n'ekikondo, n'ebyoto, n'ebintu eby'omu watukuvu bye baweerezesa n'olutimbe n'okuweereza kwalwo kwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulimu gwabwe gwali gwa kulabirira Ssanduuko ey'Endagaano, n'emmeeza, n'ekikondo ky'ettaala, ne zaalutaari, n'ebintu eby'omu Kifo Ekitukuvu bakabona bye bakozesa mu kuweereza, n'olutimbe, n'ebikozesebwa ku lwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kye balagirwa kinaabanga sanduuko, n'emmeeza, n'ekikondo, n'ebyoto, n'ebintu eby'omu watukuvu bye baweerezesa, n'eggigi n'okuweereza kwalyo kwonna.