Numbers 3:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukulu w'Abaleevi ow'oku ntikko yali Eleyazari mutabani wa Aroni kabona, nga ye mukulu wa bonna abassiddwa ku kulabirira Ekifo Ekitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona ye yalondebwa okuba omukulu w’abakulembeze ba Abaleevi, era n’okulabirira abo abaaweerezanga mu watukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, ye anaabanga omukulu w'abakulu b'Abaleevi, ng'alabirira abo abakuuma awatukuvu we balagirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eleyazaari mutabani wa Arooni kabona, ye yali omukulu w'abakulembeze b'Abaleevi. Ye yalondebwa okukulira abalabirira Ekifo Ekitukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Eriyazaali mutabaani wa Alooni kabona ye anaabanga omukulu w'abakulu b'Abaleevi, ng'alabirira abo abakuuma awatukuvu we balagirwa.