Numbers 3:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulimu gw'abazzukulu ba Merari gwali gwa kulabirira mbaawo za Kisulo, emikiikiro, empagi n'entobo mwe zisimbibwa n'ebibikolako, era na buli kigendera ku mirimu gyabyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Be baavunaanyizibwanga emikiikiro, n’empagi, n’ebikondo, n’ebikwata ku Weema ya Mukama byonna n’ebyekuusa ku mirimu gyayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omulimu ogw'abaana ba Merali gunaabanga okulabirira embaawo ez'e Weema, n'emisituliro gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo, n'ebintu byayo byonna, n'okuweereza kwayo kwonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulimu ogwaweebwa Abamerari gwali gwa kulabiriranga mbaawo za Weema n'emikiikiro gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo, n'ebintu byayo byonna ebikozesebwa ku yo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omulimu ogulagirwa ogw'abaana ba Merali gunaabanga embaawo ez'ennyumba, n'emisituliro gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo, n'ebintu byayo byonna, n'okuweereza kwayo kwonna;