Numbers 3:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa, Aroni ne batabani baali ba kusiisiranga ku ludda lw'ebuvanjuba olw'Ekisulo, mu maaso ga Weema ey'Ensisinkano ebuvanjuba. Be baalina ogw'okulabirira Ekifo Ekitukuvu ku lw'Abayisirayeli. Omuntu owa bulijjo asemberangawo nga wa kuttibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa ne Alooni ne batabani baabwe baasiisiranga ku ludda olw’ebuvanjuba olwa Weema ya Mukama, okwolekera enjuba gy’eva mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Baavunaanyizibwanga okulabirira awatukuvu ku lw’abaana ba Isirayiri. Omuntu omulala yenna eyasembereranga awatukuvu, ng’ateekwa kufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa ne Alooni ne batabani be banaasiisiranga mu maaso g'Eweema ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu okwolekera enjuba gy'eva, nga bakuuma awatukuvu we balagirwa. Omuntu yenna anaasemberanga anattibwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa ne Arooni ne batabani be, be baasiisiranga ebuvanjuba, mu maaso g'Eweema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, nga boolekedde enjuba gy'eva. Be baalabiriranga Ekifo Ekitukuvu okutuukiriza ebyalagirwa Abayisirayeli. Omuntu omulala yenna eyasembereranga ekifo ekyo, yabanga wa kuttibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo abanaasiisiranga mu maaso g'ennyumba ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu okwolekera enjuba ng'evaayo, banaabanga Musa, ne Alooni ne batabani be, nga bakuuma awatukuvu we balagirwa, olw'okulagirwa kw'abaana ba Isiraeri; ne munnaggwanga anaasemberanga anattibwanga.