Numbers 3:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaleevi bonna abaabalibwa Musa be yabala ng'Omukama bwe yalagira, abasajja okuva ku w'omwezi ogumu n'okweyongerayo, baawera emitwalo ebiri mu enkumi bbiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuwendo gwonna ogw’Abaleevi abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali, nga mwe muli abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa ne Alooni, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna abaabalibwa ku Baleevi, Musa ne Alooni be baabala olw'ekiragiro kya Mukama ng'enda zaabwe bwe zaali, abasajja bonna abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaleevi bonna, abasajja n'abaana ab'obulenzi abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, Musa ne Arooni be baabala nga bagoberera ensibuko zaabwe, nga Mukama bwe yalagira, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna abaabalibwa ku Baleevi, Musa ne Alooni be baabala olw'ekiragiro kya Mukama ng'enda zaabwe bwe zaali, abasajja bonna abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo, baali obukumi bubiri mu enkumi bbiri.