Numbers 3:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo Nadabu ne Abiwu baafa lwe baali baweereza ekitambiro mu maaso g'Omukama eky'omuliro ekitakkirizibwa eri mu ddungu ly'e Sinayi. Tebaaleka baana, bwe batyo Eleyazari ne Yitamari be bokka abaaweereza nga bakabona mu biseera bya Aroni kitaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nno Nadabu ne Abiku baatondokera mu maaso ga Mukama ne bafa, kubanga baayokya ekiweebwayo eri Mukama Katonda n’omuliro ogutakkirizibwa nga bali mu ddungu ly’e Sinaayi. Tebaalina baana; bwe batyo, Eriyazaali ne Isamaali ne basigala nga be bokka abaaweerezanga nga bakabona ebbanga lyonna kitaabwe Alooni lye yamala nga mulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Nadabu ne Abiku ne bafiira mu maaso ga Mukama, bwe baawaayo omuliro ogutali gugwe mu maaso ga Mukama, mu ddungu ly'e Sinaayi; ne bataba na baana. Awo Eriyazaali ne Isamaali ne baweerezanga mu bwakabona mu maaso ga Alooni kitaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Nadabu ne Abihu ne bafiira mu maaso ga Mukama, bwe baaleeta mu maaso ge omuliro gw'atabalagidde, mu ddungu ly'e Sinaayi. Tebaalina baana. Olwo Eleyazaari ne Yitamaari ne baweerezanga mu bwakabona, nga balabirirwa Arooni kitaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Nadabu ne Abiku ne bafiira mu maaso ga Mukama, bwe baawaayo omuliro ogutali gugwe mu maaso ga Mukama, mu ddungu lya Sinaayi, ne bataba na baana: awo Eriyazaali ne Isamaali ne baweererezanga mu bwakabona mu maaso ga Alooni kitaabwe.