Numbers 3:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Bala abaggulanda bonna abasajja ab'Abayisirayeli, okuva ku w'omwezi ogumu n'okweyongerayo, okole olukalala lw'amannya gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Bala abaana ba Isirayiri bonna aboobulenzi ababereberye okuva ku mwana ow’omwezi ogumu n’okusingawo okole olukalala lw’amannya gaabwe gonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Bala abasajja ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, owandiike amannya gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Bala abaggulanda bonna, abasajja n'abaana ab'obulenzi abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, ab'Abayisirayeli, owandiike amannya gaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Bala abasajja ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo, otwale omuwendo gw'amannya gaabwe.