Numbers 3:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kifo kya buli muggulanda w'Abayisirayeli ndeeteraamu Abaleevi, nze Mukama. Era ndeetera n'ebisolo byabwe mu kifo ky'ebiggulanda mu bisolo by'Abayisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ojja kunfunira Abaleevi mu kifo ky’ababereberye ab’abaana ba Isirayiri, era onfunire n’ente ez’Abaleevi mu kifo ky’ente ez’abaana ba Isirayiri embereberye. Nze Mukama Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mu kifo ky'abasajja ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri, njawulira Abaleevi babe bange, Nze Mukama. Era njawulira ebisibo by'Abaleevi bibe byange mu kifo ky'embereberye zonna, mu bisibo by'abaana ba Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mu kifo ky'abaggulanda bonna ab'obulenzi ab'Abayisirayeli, njawulira Abaleevi, babe bange, Nze Mukama. Era njawulira amagana g'Abaleevi gabe gange, mu kifo ky'ensolo zonna ezisooka okuzaalibwa mu magana g'Abayisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olintwalira nze Abaleevi nze Mukama mu kifo ky'ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri; n'ebisibo by'Abaleevi mu kifo ky'embereberye zonna ku bisibo by'abaana ba Isiraeri.