Numbers 3:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja bonna abaabalibwa okusinziira ku muwendo gw'amannya gaabwe, ng'ovudde ku w'omwezi ogumu n'okweyongerayo, baawera emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu bibiri mu nsanvu mu basatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okugatta awamu abaana aboobulenzi ababereberye bonna okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa, nga n’amannya gaabwe gawandiikiddwa ku lukalala, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri mu nsanvu mu basatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abasajja ababereberye bonna abaali bawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, omuwendo gwabwe gwali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu bibiri mu nsavu mu basatu (22,273).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era abaggulanda bonna ab'obulenzi, okuva ku bawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, abaawandiikibwa amannya gaabwe ne babalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu bibiri mu nsavu mu basatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abasajja bonna ababereberye, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo, abo abaabalibwa ku bo, baali obukumi bubiri mu enkumi bbiri mu bibiri mu nsanvu mu basatu.