Numbers 3:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Twala Abaleevi mu kifo ky'abaggulanda bonna ab'Abayisirayeli, n'ebisolo byabwe mu kifo ky'ebiggulanda mu magana gaabwe; Abaleevi banaabeeranga bange. Nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nfunira Abaleevi badde mu kifo ky’abaana ba Isirayiri ababereberye, n’ente z’Abaleevi zidde mu kifo ky’ente z’abaana ba Isirayiri, era Abaleevi banaabanga bange. Nze Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Njawulira Abaleevi mu kifo ky'ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri babe bange, n'ebisibo by'Abaleevi mu kifo ky'ebisibo by'abaana ba Isiraeri; binaabanga byange, Nze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu kifo ky'abaggulanda ab'obulenzi ab'Abayisirayeli, yawula Abaleevi babe bange, era yawula amagana gaabwe gabe gange, mu kifo ky'amagana g'Abayisirayeli. Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Twala Abaleevi mu kifo ky'ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri n'ebisibo by'Abaleevi mu kifo ky'ebisibo byabwe: era Abaleevi banaabanga bange; nze Mukama.