Numbers 3:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'akuŋŋaanya ssente ez'okununula bali abaali basuusuubye ku banunuddwa Abaleevi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Musa n’asolooza ensimbi ez’okwenunula ku abo abaasukkirira ku muwendo gw’abo abaanunulibwa Abaleevi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'abasoloozako ffeeza enunula abo abaasukka ku abo abataanunulibwa n'Abaleevi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo Musa n'asolooza ensimbi ku abo abaafikkawo nga tebanunuliddwa Baleevi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'abasoloozaako effeeza enunula abo abafikkawo ku abo abaanunulibwa n'Abaleevi: