Numbers 3:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ba kukolanga emirimu ye n'ekibiina gye babatuma okukola mu Weema ey'Ensisinkano nga baweereza Ekisulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Banaamukoleranga emirimu era ne baweereza n’ekibiina kyonna awali Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu awali Eweema ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
banaayambanga kabona n'abantu bonna okutuukiriza bye balagirwa okukola mu Weema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banaayambanga bakabona n'abantu bonna okutuukiriza bye balagirwa okukola mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era banaakuumanga ebyo ye bye yalagirwa, n'ebyo ekibiina kyonna bye kyalagirwa, mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu, okukolanga okuweereza okw'omu nnyumba.