Numbers 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ba kukuuma eby'omu Weema ey'Ensisinkano nga bakola emirimu gy'Abayisirayeli nga baweereza Ekisulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Banaalabiriranga ebintu byonna eby’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bakola emirimu gy’omu Weema ya Mukama nga batuukiriza ebyo byonna ebivunaanyizibwa abaana ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era banaakuumanga ebintu byonna eby'omu Weema ey'okusisinkanirangamu, n'ebyo abaana ba Isiraeri bye baalagirwa, n'okukolanga okuweereza okw'omu Weema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banaalabiriranga ebintu byonna eby'omu Weema ey'Okunsisinkanirangamu, era banaakoleranga Abayisirayeli abalala bonna bye balagirwa okukola mu Weema eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era banaakuumanga ebintu byonna eby'omu weema ey'okusisinkanirangamu, n'ebyo abaana ba Isiraeri bye baalagirwa, okukolanga okuweereza okw'omu nnyumba.