Numbers 30:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukazi ali ne bba bw'akolanga obweyamo oba bwe yeesibanga n'ekirayiro,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bba n’abiwulirako, naye n’atabaako ky’agamba mukazi we, n’atamuziyiza; kale, obweyamo bw’omukazi oyo bwonna bunaasigalangawo, ne buli kimu kyonna kye yasuubiza ne yeerayirira, binaasigalangawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bba n'akiwulira, n'asirika, n'atamugaana; kale obweyamo bwe bwonna n'ekirayiro kye binaakakatanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bba n'akiwulira, n'asirika busirisi n'atamugaana, byonna omukazi oyo bye yeeyama, na buli kye yalagaanya okwerumyamu, binaabanga bikakasiddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bba n'akiwulira n'amusirikira n'atamugaana; kale obweyamo bwe bwonna bunaanyweranga, na buli ndagaano gye yalagaanya obulamu bwe eneenyweranga.