Numbers 30:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bba n'akiwulirako, naye n'atabaako ky'amugamba, obweyamo bwe bwonna n'okwesiba kwonna kwe yeesiba binaasigalanga bikyabalibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bba bw’anaabanga abiwuliddeko, kyokka n’abidibya n’abisazaamu, olwo tewaabengawo bweyamo oba ebisuubizo ebyava mu kamwa k’omukazi, ebinaasigalangawo, era Mukama Katonda anaabimusonyiwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bba bw'anaabigaananga ku lunaku lw'abiwulirirako, olwo byonna omukazi bye yeeyama ne bye yeerayirira tebikakatenga, kubanga bba yabigaana, era Mukama anaamusonyiwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bba bw'anaabigaananga ku lunaku lw'abiwulirirako, olwo byonna omukazi oyo bye yayogera eby'obweyamo bwe, oba eby'endagaano gye yakola, tebiikakasibwenga. Bba anaabanga abimenyeewo, era Mukama anaasonyiwanga omukazi oyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bba oba nga yabidibya ku lunaku lwe yabiwulirirako; kale buli ekyafuluma mu mimwa gye mu bigambo by'obweyamo bwe oba mu bigambo by'endagaano y'obulamu bwe tekinyweranga: bba ng'abijjuludde; era Mukama anaamusonyiwanga.