Numbers 30:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye singa bba bw'abiwulirako, abisazaamu, buli bweyamo bwe na buli kwesiba kwe yeesiba binaabanga tebikyabalibwa; Omukama alimusonyiwa kubanga bba yabisazaamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bba anaayinzanga okukakasa oba okudibya obweyamo bwonna mukazi we bw’anaabanga akoze n’ebisuubizo byonna by’anaabanga yeerayiridde ebirimu n’okwerumya n’okwefiiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli bweyamo na buli kwerayirira kwonna, bba ayinza okubikkiriza oba okubigaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli bweyamo, na buli ndagaano omukazi gy'akola ng'alayira, ey'okubaako kye yeerumyamu, bba ayinza okugikakasa oba okugimenyawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli bweyamo na buli kirayiro eky'endagaano eky'okwebonereza obulamu bwe, bba ayinza okukinyweza, oba bba ayinza okukijjulula.