Numbers 30:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bba ayinza okukkiriza oba okusazaamu obweyamo bwe oba okwesiba n'ekirayiro kwe yeesiba olw'okweresa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bba bw’ataabengako ne kyabyogerako nga ky’ajje abiwulire, olwo omukazi anaabanga akakasizza obweyamo bwe bwonna n’ebisuubizo bye yeerayirira. Bba anaabikakasanga bw’ataabengako ky’ategeeza mukazi we bw’anaabanga yaakamala okubiwulirako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bba bw'anaamusirikiriranga ennaku zonna, obweyamo bwe n'okwerayirira kwe binakakatanga, kubanga bba teyamugaana ku lunaku lwe yabiwulirirako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bwe wanaayitangawo ennaku nga bba talina ky'amugamba, bba oyo anaabanga akakasizza byonna mukazi we bye yeeyama, ne bye yalagaanya, kubanga okuva ku lunaku lwe yabiwulirirako, talina kye yamugamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bba bw'anaamusirikiriranga ddala bulijjo bulijjo; kale anaanywezanga obweyamo bwe bwonna, oba endagaano ze zonna eziri ku ye: ng'abinywezezza, kubanga yamusirikira ku lunaku lwe yabiwulirirako.