Numbers 30:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bba bw'awuliranga, naye ennaku ne ziyita nga talina ky'amugambye, anaabanga akkiriza buli bweyamo bwe, na buli kwesiba kwe yeesiba binaasigalanga bikyabalibwa, kubanga bwe yakiwulirako talina kye yamugamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe wanaayitangawo ennaku ng’amaze okubiwulirako, oluvannyuma n’alyoka abidibya, y’anaavunaanyizibwanga ku bitatuukiridde mu bweyamo bw’omukazi oyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bba bw'anaabigaananga ng'ate yabiwulira n'asirika, ye anaabeerangako omusango gwa mukazi we.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula bw'anaabimenyangawo ng'amaze ennaku ng'abiwulidde, ye anaavunaanibwanga omusango gwa mukazi we ogw'obutabituukiriza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bw'anaabidibyanga ng'amaze okubiwulira; kale ye anaabangako obutali butuukirivu bw'omukazi.