Numbers 30:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bw'abisazangamu nga wayiseewo ebbanga ng'abiwuliddeko, aneetikkanga omusango gw'ekyonoono kya mukazi we.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ago ge mateeka Mukama Katonda ge yalagira Musa aganaakwatanga ku musajja ne mukazi we, era ne kitaawe w’omuwala ne muwala we anaabanga akyali omuvubuka ng’akyasula mu nju ya kitaawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ago ge mateeka Mukama ge yalagira Musa, wakati w'omusajja ne mukazi we, era wakati w'omuwala ne kitaawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ago ge mateeka Mukama ge yawa Musa ku bweyamo obw'omukazi alina bba, n'obw'omuwala akyali mu maka ga kitaawe, ng'omuwala oyo tannafumbirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ago ge mateeka Mukama ge yalagira Musa, wakati w'omusajja ne mukazi we, wakati wa kitaawe w'omuwala ne muwala we, ng'akyali mu buto bwe, mu nnyumba ya kitaawe.