Numbers 30:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa yagamba abakulu b'ebika by'Abayisirayeli nti: “Kino kye kigambo Omukama ky'alagidde:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja bw’aneeyamanga eri Mukama Katonda, oba bw’anaalayiranga okutuukiriza ekisuubizo kye, ekigambo kye ekyo taakimenyengawo, naye anaakolanga nga bw’anaabanga asuubizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja bw'aneeyamanga obweyamo eri Mukama, oba bw'anaalayiranga ekirayiro, taamenyengawo kirayiro kye, anaakolanga nga byonna bwe biri by'ayogedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja bw'aneeyamanga okubaako ky'awa Mukama, oba bw'anaalayiranga nti amaliridde okubaako kye yeerumyamu, taavenga ku ky'alagaanyizza, wabula anaatuukirizanga ky'ayogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja bw'aneeyamanga obweyamo eri Mukama, oba bw'anaalayiranga ekirayiro okulagaanya obulamu bwe n'endagaano, tavumisanga kigambo kye; anaakolanga nga byonna bwe biri ebifuluma mu kamwa ke.