Numbers 30:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Omusajja bw'akolanga obweyamo ew'Omukama oba bw'alayiranga ne yeesiba, tamenyanga ky'agambye, wabula buli kye yayogera akituukirizanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omukazi omuvubuka anaabeeranga akyasula mu maka ga kitaawe, bw’aneeyamanga eri Mukama Katonda, oba bw’anaalayiranga okutuukiriza ekisuubizo kye, kale, obweyamo bwe bwonna n’ebyo by’anaabanga asuubizza binaasigalanga nga bwe biri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuwala akyali mu maka ga kitaawe bw'aneeyamanga obweyamo eri Mukama oba bw'anerayiriranga ekigambo kyonna,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuwala akyali mu maka ga kitaawe bw'aneeyamanga okubaako ky'awa Mukama, oba bw'anaalayiranga nti amaliridde okubaako kye yeerumyamu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omukazi bw'aneeyamanga obweyamo eri Mukama, ne yeeragaanya n'endagaano, ng'ali mu anyumba ya kitaawe, mu buto bwe;