Numbers 30:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukazi akyali omuto, akyasula mu nnyumba ya kitaawe, bw'akolanga obweyamo oba bwe yeesibanga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kitaawe bw’anaakiteegerangako, n’amuziyiza, kale, tewaabengawo n’ekimu ku ebyo by’anaabanga asuubizza ebinaasigalanga nga bwe biri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kitaawe n'awulira obweyamo n'okwerayirira okw'omuwala kw'akoze n'atabiwakanya; byonna muwala we bye yeeyamye ne bye yerayiridde binaabanga bikakase.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kitaawe n'awulira obweyamo bwa muwala we, oba endagaano ye, n'atabiwakanya, olwo byonna omuwala bye yeeyamye ne by'alagaanyizza okwerumyamu, binaabanga bikakasiddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kitaawe n'awulira obweyamo bwe n'endagaano gy'alagaanyizza obulamu bwe, kitaawe n'amusirikira: kale obweyamo bwe bwonna bunaanyweranga, na buli ndagaano gy'alagaanyizza obulamu bwe eneenyweranga.