Numbers 30:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kitaawe bw'amanyanga ku bweyamo bwe oba ku kwesiba kwe yeesiba, n'atabaako ky'amugamba, obweyamo bwe bwonna n'okwesiba kwe yeesiba binaasigalanga bikyabalibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kitaawe bw’anaamugaananga ku lunaku lw’anaakiwulira, tewaabengawo ku bweyamo bwe newaakubadde bye yalayira bye yasuubiza ebinaatuukirizibwanga, Mukama Katonda anaabimusonyiwanga, kubanga kitaawe abimuziyizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kitaawe bw'anaamugaananga ku lunaku lw'abiwulirirako; tewabangawo ku bweyamo bwe oba ku kirayiro kye ekikakata, era Mukama anaamusonyiwanga, kubanga kitaawe yamugaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kitaawe bw'anaamugaananga ku lunaku lw'abiwulirirako, tewaabengawo kikakasibwa ku bweyamo bwe, wadde ku ndagaano gy'akoze okubaako kye yeeyamyemu, era Mukama anaasonyiwanga omuwala oyo, kubanga kitaawe yamugaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kitaawe bw'anaamugaananga ku lunaku lw'awulirirako; tewabangawo ku bweyamo bwe newakubadde ku ndagaano ze, ze yalagaanya obulamu bwe, eneenyweranga: era Mukama anaamusonyiwanga kubanga kitaawe yamugaana.