Numbers 30:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kitaawe bw'akiwuliranga n'amugaanirawo, obweyamo bwe n'okwesiba kwe yeesiba binaabanga tebikyabalibwa, n'Omukama agenda kumusonyiwa, kubanga kitaawe yamugaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’anaafumbirwanga ng’amaze okweyama ng’awaddeyo n’ebisuubizo nga tamaze kwerowooza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuwala bw'anaafumbirwanga nga alina kye yeeyama, oba kye yeerayirira nga ayanguyiriza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuwala bw'anaafumbirwanga ng'alina kye yeeyama, nga ataddeyo omwoyo oba nga tataddeeyo mwoyo, oba kye yalagaanya okwerumyamu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'anaabanga alina bba, obweyamo bwe nga buli ku ye, oba emimwa gye bye gyogera ng'ayanguyiriza, by'alagaanyizza obulamu bwe;