Numbers 30:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Bw'afumbirwanga ng'amaze okukola obweyamo, oba mu kumala googera yeetema ekintu ne yeesiba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bba n’abiwulirako, naye n’atabaako ky’ayogera; kale, obweyamo bw’omukazi oyo n’ebisuubizo bye, bye yalagira okubituukiriza, binaasigalanga nga bwe biri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bba bw'anaakiwuliranga, n'atamugaana ku lunaku lw'akiwulirirako, obweyamo obwo oba ekirayiro kye kinaabanga kikakase.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bba bw'anaakiwuliranga n'atakiwakanya ku lunaku lw'akiwulirirako, omuwala oyo kye yeeyama oba kye yalagaanya okwerumyamu, kinaabanga kikakasiddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bba n'awulira n'amusirikira ku lunaku lw'akiwulirirako: kale obweyamo bwe bunaanyweranga, n'endagaano z'alagaanyizza obulamu bwe zinaayweranga.