Numbers 30:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bba bw'akiwuliranga, naye n'atabaako ky'amugamba, obweyamo bwe n'okwesiba kwe yeesiba binaasigalanga bikyabalibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye singa bba bw’amala okubiwulirako n’amuziyiza, olwo obweyamo bw’omukazi oyo n’ebyo byonna bye yasuubiza nga teyeerowozezza, biba bifudde, era Mukama Katonda anaasonyiwanga omukazi oyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bba bw'anaamugaananga ku lunaku lw'akiwulirirako; kale obweyamo bwe oba ekirayiro kye yalayirira mu kwanguyiriza, binajjulukukanga, era Mukama anaamusonyiwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bba bw'anaamugaananga ku lunaku lw'akiwulirirako, anaamenyangawo ebyo mukazi we bye yeeyama, oba bye yalagaanya nga ataddeyo oba nga tataddeeyo mwoyo. Era Mukama anaasonyiwanga omukazi oyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bba bw'anaamugaananga ku lunaku lw'akiwulirirako; kale anajjululanga obweyamo bwe obuli ku ye, n'emimwa gye bye gyogedde ng'ayanguyirizza, by'alagaanyizza obulamu bwe: era Mukama anaamusonyiwanga.