Numbers 30:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye singa bba bw'akiwulira, asazaamu obweyamo bwe obwali bumusiba, oba okwetema kwe yamala gakola ne yeesiba, Omukama alimusonyiwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Obweyamo n’ebisuubizo bwe binaakolebwanga nnamwandu oba omukazi eyayawukanira ddala ne bba mu bufumbo, binaasigalanga nga bwe biri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye obweyamo bwa nnamwandu oba obw'oyo eyagobebwa bba na buli kye yalagaanya obulamu bwe, anaabituukirizanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka nnamwandu oba omukazi eyayawukana ne bba, anaatuukirizanga obweyamo bwe, oba buli kye yalagaanya okwerumyamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye obweyamo bwa nnamwandu oba bw'oyo eyagobebwa bba, buli kye yalagaanya obulamu bwe, kinaanyweranga ku ye.