Numbers 31:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasibe, olwayo n'omunyago ne babireeta eri Musa ne Eleyazari kabona n'eri ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli mu lusiisira mu miseetwe gy'e Mowabu okumpi ne Yorudani emitala wa Yeriko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne babireeta awali Musa ne Eriyazaali kabona n’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri mu lusiisira lwabwe olwali mu nsenyi za Mowaabu eziri ku mugga Yoludaani okutunuulira emitala wa Yeriko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baleeta omunyago eri Musa n'eri Eriyazaali kabona, n'eri ekibiina eky'abaana ba Isiraeri, ekyali mu lusiisira, mu nsenyi z'e Mowaabu eziri ku Yoludaani, okwolekera Yeriko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne baguleeta eri Musa ne Eleyazaari kabona, n'eri ekibiina ky'Abayisirayeli, ekyali mu lusiisira, mu nsenyi z'e Mowaabu, ku Yorudaani okumpi ne Yeriko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baleeta omwandu ne bye baafuna n'omunyago eri Musa n'eri Eriyazaali kabona n'eri ekibiina ky'abaana ba Isiraeri, eri olusiisira olwali mu nsenyi za Mowaabu, eziri ku Yoludaani e Yeriko.