Numbers 31:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si be baabo abaalimbalimba Abayisirayeli ne babawugula okuva ku Mukama n'amagezi ga Balaamu ge yabawa, ne babakoza ebyo ebyagwa e Pewori, ekibonerezo ne kigwira abantu b'Omukama?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mumanyi nga be baaleetera abaana ba Isirayiri okujeemera Mukama Katonda e Peoli bwe baakolera ku magezi Balamu ge yabawanga, kawumpuli amale alumbe ekibiina kya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mujjukire nga baali bakazi abo mu mitawaana gye Peoli, abaagoberera amagezi ga Balamu, ne basendasenda Abaisiraeri obutaba beesigwa eri Mukama, bw'atyo kawumpuli n'ajja mu bantu ba Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mujjukire nga baali bakazi abo mu mitawaana gye Pewori, abaagoberera amagezi ga Balamu, ne basendasenda Abayisirayeli obutaba beesigwa eri Mukama, bw'atyo kawumpuli n'ajja mu bantu ba Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, bano be baasobesa abaana ba Isiraeri ku Mukama, olw'okuteesa kwa Balamu, mu bigambo bya Peoli, bw'atyo kawumpuli n'aba mu kibiina kya Mukama.