Numbers 31:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Woolera eggwanga ku Bamidiyaani olw'Abayisirayeli. ng'omaze, ojja kwegatta ku bajjajjaabo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Woolera eggwanga ly’abaana ba Isirayiri ku Bamidiyaani, oluvannyuma olyoke ogende abantu bo bonna gye balaga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Woolera eggwanga ly'abaana ba Isiraeri ku Bamidiyaani olw'ebyo bye baakola abaana ba Isiraeri, oluvannyuma olyoke ofe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Woolera eggwanga ku Bamidiyaani olw'ebyo bye baakola Abayisirayeli. Ng'omaze okukola ekyo, olyoke ofe weegatte ku bajjajjaabo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Woolera eggwanga ly'abaana ba Isiraeri ku Bamidiyaani; oluvannyuma olyoke okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo.