Numbers 31:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
buli kyonna ekiyinza okuyita mu muliro, bakiyise mu muliro kitukuzibwe, oluvannyuma era kyozebwe n'amazzi agatukuza, olwo kinaaba kirongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ekirala kyonna ekigumira omuliro mukiyise mu muliro kiryoke kibeere ekirongoofu. Naye era kisaana okulongoosebwa n’amazzi agalongoosa. Ebyo byonna ebitaasobole kuyita mu muliro biyisibwe mu mazzi ago.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
buli kintu ekiyinza okugumira omuliro, munaakiyisa mu muliro, ne kiryoka kiba ekirongoofu, naye era ne kitukuzibwa ne mu mazzi ag'okwetukuza. N'ebyo byonna ebitayinza kugumira muliro, munaabitukuza nga mubiyisa mu mazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
buli kintu ekiyinza okugumira omuliro, munaakiyisa mu muliro, ne kiryoka kiba ekirongoofu, naye era ne kitukuzibwa ne mu mazzi ag'okwetukuza. N'ebyo byonna ebitayinza kugumira muliro, munaabitukuza nga mubiyisa mu mazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
buli kintu ekiyinza omuliro, munaakiyisa mu muliro, ne kiba kirongoofu; naye kinaalongoosebwa n'amazzi ag'okwawula: n'ebyo byonna ebitayinza muliro munaabiyisa mu mazzi.