Numbers 31:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lwomusanvu mwoze engoye zammwe, olwo munaaba balongoofu, era olwo muliyinza okuyingira mu lusiisira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’omusanvu mwozanga engoye zammwe, mulyoke mubeere abalongoofu. Ebyo nga biwedde mulyoke muyingire mu lusiisira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mulyoza engoye zammwe ku lunaku olw'omusanvu, ne muba balongoofu, oluvannyuma ne mulyoka muyingira mu lusiisira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era munaayoza ebyambalo byammwe ku lunaku olw'omusanvu, ne muba balongoofu, olwo ne mulyoka muyingira mu lusiisira.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mulyoza engoye zammwe ku lunaku olw'omusanvu, ne muba balongoofu, oluvannyuma ne mulyoka muyingira mu lusiisira.