Numbers 31:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ggwe ne Eleyazari n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe mu kibiina mubale omunyago n'ebyawambibwa byonna, abantu n'ebisolo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ggwe ne Eriyazaali kabona, n’abakulembeze b’empya ez’omu kibiina mubale obungi bw’omunyago ogwaleetebwa omuli abantu n’ebisolo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ggwe ne Eriyazaali kabona, n'abakulembeze b'abantu, mubale omuwendo ogw'omunyago ogw'abantu era n'ensolo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe ne Eleyazaari kabona, n'abakulembeze b'ekibiina ky'abantu, mubale ebintu byonna ebyanyagiddwa, wamu n'abantu, era n'ensolo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bala omuwendo gw'omunyago ogwanyagibwa, abantu era n'ensolo, ggwe ne Eriyazaali kabona n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'ekibiina: