Numbers 31:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwayo mulugabanyeemu wabiri wakati w'abo abaagenda ku lutalo n'ekibiina kyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omunyago gugabanyeemu mu bitundu bibiri: eky’abatabaazi abaalwana olutalo n’ekyabaasigala mu kibiina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omunyago mugwawulemu ebitundu bibiri: ekitundu ekimu mukiwe abatabaazi abaatabaala, ekitundu ekirala mukiwe ekibiina ky'abantu abalala bonna abasigaddewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omunyago mugwawulemu ebitundu bibiri ebyenkanankana: ekitundu ekimu, mukiwe abaserikale abaalwana olutalo, ekitundu ekirala, mukiwe ekibiina ky'abantu abalala bonna abasigaddewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mwawulemu omunyago ebitundu bibiri; eky'abasajja abamanyi entalo abaatabaala, n'eky'ekibiina kyonna: