Numbers 31:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'Omukama omuggyireko empooza ku mugabo gw'abatabaazi, ng'omuggyirako kimu kimu ku buli bikumi bitaano eby'abantu, endogoyi, endiga n'embuzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaggya ku basajja abaatabaala ekitundu kimu ku buli bikumi bitaano, nga gwe musolo gwa Mukama Katonda, oba bantu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga oba mbuzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku mugabo gw'abatabaazi abaatabaala, onoosoloolezaako Mukama omusolo: omuntu omu ku buli bawambe bitaano (500). Era onookola bw'otyo ku nte, ku ndogoyi, ku mbuzi ne ku ndiga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku mugabo gw'abaserikale abaalwana olutalo, onoosoloolezaako Mukama omusolo: omuntu omu ku buli bawambe ebikumi bitaano. Era onookola bw'otyo ne ku nte, ne ku ndogoyi, ne ku mbuzi n'endiga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omusolooleze Mukama omusolo ku basajja abatabaazi abaatabaala: buli bitaano obulamu bumu, ku bantu ne ku nte ne ku ndogoyi ne ku mbuzi: